HADITHUL QUDSI_AT-TAUBAH_shk rafi hassam mutumba
00:00
00:00
Embed Code (recommended way)
Embed Code (Iframe alternative)
Please login or signup to use this feature.

HADITH AL QUDSI
TUKOLE NYO TAUBAH(TWENENYEZE ALLAH KUBANGA TUSOBYA MISANA NEKIRO SHK RAAF HASSAN MUTUMBA
Allah tabaraqaAllah atugamba mu Surat fatir nti mazima dala shaytan mulabe wamwe walwatu era mubeerenga mumufuula mulabe wamwe, mazima shaytan eyo ekowoola kibinjja kyayo ekyokubeeranga babeera mumuliro jahanam nayo.
Omubaka atugamba nti abange MWe abaddu bange munsobya ekiro nemisana era nga muwangalira mumazambi naye atee nze nsonyiwa amazambi gona mwenenye! Munsabe okubasonyiwa njyabasonyiwa.
Mu aya emu Allah atugamba nti singa twari tetumusobya yandiresewo ebitonde ebirala ebisobya feenatujyawo nasigaza abanamusobya nga webenenya
Emirimu jyaffe ,jyetutambulila wonna wajudde mazambi newobeera wakola ezaambi lyowulila anti denne nyo Allah wonamwenenyeza ajjyatusonyiwa
Allah atugamba nti gamba abaddubange abo abedibagga amazambi nga yee ajudde mazambi , mazima temukutukangawo mukwenenya , Allah asonyiwa amazambi gonna. Karibeerenga denne litya kasita oddaa ewa Allah nga okoze taubah eyanamadala
Hadith endala Allah atugamba nti omuntu yenna newajja nolusenyi oba ensenyi zamazambi nga zenkana ensi , Allah ajja jyoli nensenyi nensenyi zokukusonyiwa. Era. Newokola amazambi negatuuka kugulu, Allah agamba nti wewenenya Allah ajya bikyusaamu ebirungi , baganda bange omulyango gwokwenenya mugule. Twenenye, okukola taubah tekyetaga kukunganya Bantu wadde okwetta ,fukamira wona woyagadde wenenye ,wenenyeze wona wojisoboledde okujikolela
Hadith endala Allah tabaraqaAllah ayanjuluza omukono gwe ekiro nagamba ani ansabba muwee era musonyiwe eri abo abasiibye mumazambi atee emisana welutuuka era nayanjuluza emikono jye asobole okusonyiwa abo abasuze mubwezi namazambi amalala
Muganda wange genda wona woyagadde, saalayo erakat biri wenenye Allah mwetefutefu okutusonyiwa.
Nabbi atugamba. Yesiimye NyO oyo agenda okusangibwa nga mukitabo kye mujudemu istigfar nga yajijyanga kumutima, era alituula mumutu gwebayita tuubu , taubah teyina kiseera wadde ekifo
Okyalina chance okubeeranga olimulamu , kijjyakubeera kyanaku Allah okutwalilawo nga tewenenyeza.
Allah agambye asonyiwa amazambi gonna mwenenye njyabasonyiwa.
BaraqaAllahu fiika

Licence : All Rights Reserved


X